Micah 6

1 aMuwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,

“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
n’obusozi buwulire bye mugamba.

2 b“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
era agenda kuwawabira Isirayiri.

3 c“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
4 dNabaggya mu nsi ye Misiri
ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
5 eMmwe abantu bange mujjukire
ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

6 fMwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
7 g Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
8 h Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

9Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.
“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,
n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
10 iNnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 jNnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
12 kAbagagga baakyo bakambwe
n’abatuuze baamu balimba
n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
13 lNange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,
nkumalewo olw’ebibi byo.
14 mOnoolyanga, naye n’otokutta,
era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.
Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka
kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
15 nOlisiga naye tolikungula,
oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,
olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
16 oOlw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
era olibaako ekivume ky’amawanga.”
Copyright information for LugEEEE